Buganda Ne Bunyoro Ekibaawula Ttaka

0
325

Abalamuzi abataano abatuula ku kkooti etaputa ssemateeka nga bakulemberwa amyuka Ssaabalamuzi wa Uganda Alphonse Owiny Dollo bagobye okusaba kw’abantu okuva mu Bunyoro abaagala gavumenti ejje ebyapa ku bantu abalina ettaka e Bunyoro nga si baayo, abaabifuna ku mirembe gy’abafuzi b’amatwale. Kkooti bano ebawadde gaabuwa ensonga zaabwe bazizze mu kkooti enkulu, oba baddemu okuzisengeza ssi nakindi boogerezeganye ne ssaabawolereza wa gavumenti.