FDC Ekyalemedde ku Kalulu ka 2016

0
498
Ekibiina kya FDC kirumirizza pulezidenti Museveni okuzingamya enteekateeka z’okuteseganya ku mbeeera y’ebyobufuzi etawomya nakabululu mu ggwanga ezitegekeddwa ku mitendera ejenjawulo. Nga ayanukula kubisambibwa nti Dr. Kiiza Besigye yakiriza okuteseganya ne pulezidenti Museveni, Ambassador Wasswa Biriggwa, Ssentebe wa Fdc akakasizza nti batuukirirwa government ya Sweden boogerezeganye ne Pulezidenti era nga ne pulezidenti akirizza wabula okuva olwo, taddangamu kunyega ku nsonga eno.