Kato Lubwama Awabudde Bebe Cool

0
888

Omubaka wa Lubaga South mu paalamenti Kato Lubwama ayambalidde abawagizi abaakubye omuyimbi Babe Cool obucupa bweyabadde ayimba mu kivvulu ekimu mu Kampala wiiki ewedde era n’agamba nti abo abawagizi abatalina mpisa balekere awo okugenda mu bivvulu byabwe. Omubaka Kato Lubwama nga munnakatemba ow’erinnya aludde mu nsiike agambye nti okutandika okuyingiza ebyobufuzi mu bivvulu by’abayimbi kibi nnyo era kyandyonoona ekisaawe ky’okuyimba ekibadde kitandise okukula wano mu Uganda.