Kayihura Yandivunaanibwa Ebweru ku ICC

0
406

ENSONGA zeeyali ssaabaduumizi wa Poliisi mu ggwanga gen Kale Kayihura zaandyongera okwonooneka anti waliwo abantu abagamba nti baatulugunyizibwanga ku biragiro bya Kayihura Ne banne abawandiikidde kkooti yensi yonna nga baagala ennonyereze era ewozese general ono n’abalala abasukka mu kkumi Mu kiwandiiko essiga eddamuzi kyerifunyeeko bagamba kkooti yensi yonna yeegwanidde eyingire mu nsonga zino kubanga wano mu Uganda tebasuubirawo bwenkanya kubanga abavunaanibwa bantu bakulu mu biti byabwe.