Mumbere Ayagala Kuddayo e Kasese

0
690

Kkooti enkulu e jinja etandise okuwuliriza okusaba kwa Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere ng’ayagala kkooti emuggyeko obukwakkulizo bweyamussaako bweyali yeeyimirirwa. Ng’ayita mu munnamateeka we Alfred Makasi, Mumbere yateekayo okusaba kwe ng’ayagala kkooti emukkirize okugenda e Kasese gy’amaze ebbanga lya myaka ebiri nga talinnyayo, ate nga bwebwakabaka bwe.