Museveni Waakuteesa Ne Abavuganya

0
730

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni era nga ye ssentebe w’ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM kyaddaaki akirizza okwetaba mu nteeseganya ne bannabyabufuzi abalala, kulw’obulungi bw’eggwanga. Bino bikakasiddwa abali mu mitambo gyenteekateeka z’enteeseganya zino bannamukago gwa Inter-Religious Council of Uganda (IRCU), ogutaba enzikiriza ez’enjawulo mu Uganda. Ttabamiruka ono atuumiddwa TUULA TWOGERE’ wa kubeerawo nga enaku z’omwezi 21 omwezi ogw’ekumi n’ogumu oba museenene omwaka guno (2018),nga lwakuyindira mu kisaawe e Namboole. Abakulembeze ba disitulikiti y’e Buyende wamu ne Poliisi basiimye emirimu gy’eyali omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti eno Muhammad Kirumira eyakubibwa amasasi gyebuvuddeko. Bano nga bakulemberwa ssentebe wa disitulikiti eno Robert Ziribasanga, omukiise wa gavt e Buyende Fredrick Bangu n’abakulembeze b’obusiraamu beetabye mu kusaca okw’enjawulo okubadde ku kitebe kya disitulikiti okujjukira emirimu emirungi Muhammad Kirumira gyeyakola ng’aduumira Poliisi e Buyende.