Omuwala Ateebereza Okugezaako Kujjamu Lubuto Bamusanze Afudde

0
330

Omuwala ategeerekeseko nga Kunihira Violet ow’emyaka 18 asangiddwa nga afiiridde mu dduuka lya mugandawe mwabadde asula nga kiteeberezebwa okuba nga yabadde agezaako kujjamu lubuto. Abatuuze ku kyalo Rwengoma mu municipaali y’e Fort Portal bebaguddemu ekikangabwa kino kyokka bakakasizza nti omugenzi tabadde mulwadde yadde nga abadde yakasenga ku kitundu.