Otto Oteekwa Okwetonda – Babaka

0
513

Ababaka ba paalamenti bavuddeyo nebatabukira mubaka munabwe owa Aruu South Samuel Odanga Otto eyavudde mumbera olunku lwajjo nalangira amyuka Sipiika Jacob Oulanya okuba owe kibogwe nga akubiriza entula za paalamenti. Ababaka naddala abaali kuludda oluvuganya gavumenti nga bakulembeddwamu omubaka wa Kawempe North Latif Ssebagala bagambye nti Otto tagezako kulowoza nti wakitibwa nyo era bwaba tayogedde mu palamenti ababaka abalala tebasobola kwogera era nebamuwa amagezi yetondore amyuka sipika.