Waliwo Abatiisa Omubaka William Nzonghu

0
282

Nga waakayita ennaku ssatu ng’abatujju bamaze okukuba Muhammad Kirumira amasasi agaamuttiddewo, omubaka wa Paalamenti owa Busongora North William Nzonghu naye ategeezezza nga bw’alina abantu abatandise okumuwondera nga baagala omukuba masasi. Omubaka William Nzonghu agambye nti ye ne famiRe ye bali mu kutya kuba abasajja abalondoola baalabiddwako n’ewuwe nga balimiisa oba ye kennyini waali bamutuuseeko obulabe.