Nkalubo Waakuliyirira Ssekikubo

0
893

Omubaka wa bantu be Lwemiyaga Theodore Ssekikubo mukiseera kino akaga binna oluvanyuma lwokuwangula omusango ogubadde gwamufukira enko ngolo. Omusango guno ogwekuusa kuby okulonda gubadde guwezezza emyaka kumpi esatu naye nga buli lukya ate guzaala emisango emipya. Omusango ogwo gerwako gwatandika mu 2015 nga gwawabwa munne Nkalubo gwaludde nga avuganya naye kukifo kyomu baka we Lwemiyaga. Kkooti ejjulirwamu omusango guno egugobye era neragira Nkalubo okuliyirira Ssekikubo.