Minisita Awemukidde Abavubuka e Mukono

0
926

Minisita we kikula kya bantu Janat Mukwaya nga mukiseera kino asisidde mu disitulikiti ye Mukono okulambuula ebibiina bya bavubuka na’bakyala ebya ganyulwa mu nteekateeka ezimanyiddwa nga Youth livelihood ne Uganda Women Entrepreneurship program alaalisse abavubuka n’abakozi ba gavumenti ababulankanya ensimbi za gavumenti nti bakuzizza bunnambiro. Bino we biggyidde nga bangi ku bavubuka nabukulira entekateeka eno eno bazze bakyasanguza lunye nti ensimbi ezagabibwa mu mwaka gwa 2014 zali zakwekubako nfuufu nti nga babeza olwo kuwagiera gavumenti eriko.