Kamera ziraba n’abali mu mmotoka

0
760

Nga tannayolekera Kyotera ewakuziddwa olunaku lwamefuga, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asoose ku ppoliisi e Nateete okutongoza ekifo ekirawuna n’okukungaanya ebiva ku kkamera ezassibwa ku nguudo n’ekigendererwa eky’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka. Eno Museveni gyasinzidde n’alabula abamenyi b’amateeka nti ku luno tebagenda kumuwona.