Kassiano Alambudde Abantu Ba Kawuma

0
843

Abakulembeze abali ku ludda oluvuganya abali mu kisinde kya People Power abaali wakati mu kasambattuko akaali mu Arua mu Gwomunaana, na guno gujwa bakyalunyumya era emboozi ekika kino tebulamu linnya lya Yasin Kawuma eyattibwa mu kasambattuko ako. Ebbanga bweriyise n’embeera n’ekkakkana aba people Power bagenyiwaddeko mu maka g’omugenzi Yasin Kawuma eyali ddereeva wa Bobi Wine gyebaavudde nebadda ewa munnaabwe Francis Zaake Butebi.