Kkooti Y’amagye Esaze Mazima

0
702

Kkooti y’amagye esingisizza emisango abasajja abaalumbanga Bannabuddu n’ejjambiya nebabatema olwo nebakazibwako abebijambiya. Abasingisiddwa emisango kkooti y’amagye ebasindise ku kyomyo bamaleyo emyaka 160. Bano okuli Derrick Jumba ne Matia Kiiza Bukenya bakkirizza emisango gyonna egibavunaanwa, okuli okutemula abantu emirundi ebiri, okubba ensimbi eziwerera ddala obukadde 435,705,500 n’okusangibwa n’emmundu mu bukyamu ng’erimu amasasi 30. Oluuyi oluwaabi lututte obujulizi obulala mu kkooti omuli emunddu ekika kya basitoola ne AK47 n’amasasi 15 nga byonna birumika Abdala kitatta, avunaanibwa. Puliida wa Kitatta akubye ebituli mu bujulizi obw’oluuyi oluwaabi.