Abatuuze Balumbye Poliisi e Butalangu

0
487

Abatuuze ababadde abakambwe okukira ennumba balumbye police nga bakutte ensuululu, agataffaali n’embuukuuli nga baagala police ebateere abateeberezebwa okuba ababbi b’ente 2 b’ebadde ekuumira mu kaduukulu kaayo babeekolereko kubanga baludde nga babatigomya so nga mpaawo police ky’ekolawo. Bano babadde balumiriza police okwekobaana n’ababbi bano. Wabula police nayo ebaanukuzizza bukambwe omubadde omukka ogubalagala ogwa tear gas n’amasassi okubagumbulula naye nga buteerere.