Abavubuka ba NRM Ssi Bamativu

0
997
Ssentebe wa disitulikiti y’e Bushenyi awagidde abavubuka abaavaayo okwemulugunya nti omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni mu kitundu yalondayo amaka abiri gokka, w’atera okutuukira n’agawa obuyambi bwonna bweyandiwadde ab’e’ Bushenyi. Jaffer Bassajjabalaba agamba nti abavubuka kyebeemulugunyiza kituufu ddala, era ng’ensonga yaabwe bweba tetunuddwamu, kiyinza okutaataaganya akalulu ka 2021.