Amasomero Agaali Amakula Kati Matongo

0
703

Newankubadde district y’e Masaka ebbanga eriwerako ebadde ebalirwa mwezo eziri ennyo ku mwanjo mu byenjigiriza ebirungi ennaku zino bw’otuuka mu gamu ku masomero ga gavumenti aga primary wennyamira olw’embeera embi gyegalimu.
Amasomero agamu kati abayizi kyenkana tebakyalina webasomera olw’ebizimbe ebifuuse ganyegenya nga kati abakulira amasomero agamu bagamba essaawa yonna ebizimbe byandikuba n’abaana.