Bebaakonedde Amayumba e Lusanja Basobeddwa

0
696

Banannyini maka agasoba mu 50 agaasanyiziddwawo bawannyondo ba kkooti ku lwokutaano lwa sabiiti ewedde bakyakonkomalidde ku ttaka era kati tebamanyi wakudda oluvanyuma lw’omugagga Kiconco okuteeka ekikomera ku ttaka okubadde ennyumba zaabwe nga kati abawadde kiro kya leero okwamuka ettaka lyagamba nti yagula. Abatuuze ababadde basula mu bifulukwa bakyakulukusa maziga olw’ekyekango ekyabagwaamu nga kati bagamba tebalina wakulaga.