Ettaka Ly'e Mubende Likubiiza Bakanyama

0
803

Abatuuze ku kyalo Kambuye e Kanseera mu kibuga Mubende bavudde mu mbeera ne balumba agavubuka agakambwe agaayiriddwa mu kituundu ne gabagba ku ttaka. Abatuuze okukambuwala kiddiridde agavubuka gano agakuuma ettaka Kaweesi George lyeyagula ku mubaka wa president ow’e Kayunga, Lubega Wagwa, okuwamba banamawulire ababadde ku mulimu gwabwe nga gaagala okubamiza omusu.