Kkooti Egobye Okusaba kwa Bakaleke

0
818

Kkooti etaawulula emisango gyengassi egobye okusaba kwomuserikale Siraje Bakaleke kweyateekayo ngayagala kkooti eno eyimirize ssaabawaabi wa gavt okumuggulako emisango ate nemisango giyimirire okuwulirwa Omulamuzi wa kkooti enkulu Musa Ssekaana agobye okusaba kwa Bakaleke ngamba nti okulemesa kkooti ewozesa emisango gy’obukenuzi kubeera kutaataaganya mirimu gya ssaabawaabi wa gavumeenti nga nobujulizi bwa Bakaleke tebumala