Kkooti Eragidde Mabirizi Aliyirire Kabaka

0
842
Kooti ejulirwamu esazizzamu ensala ya kkooti enkulu munnamateeka Male Mabiriizi mwayali ayagalira Kabaka okumuwa olukalala lwabantu abali ku ttaka lye n’ebiwandiko bya akawunta ze ezeekuusa ku ttaka okuva lweyatandika okusolooza obusuulu Omulamuzi wa kkooti enkulu Basaza yali yasalawo nti kabaka awe Mabiriizi ebikwata ku akawunta za mmengo zonna n’ebikwata ku byapa naye ba Puliida ba kabaka nebajulira mu kkooti ejulirwamu nga bawakanya ensala eno.