Museveni Ayingidde mu By'e Lusanja

0
266

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avumiridde ekikolwa ky’okusenda ennyumba z’abantu e Lusanja mu Wakiso okwaliwo wiiki ewedde , n’agamba nti kino kyakolebwa mu bukyamu era kimenya mateeka. Museveni eyeesitukidde n’atuuka mu kifo wennyini awaamenyebwa amayumba mu Lusanja, alagidde abantu bano baweebwe weema n’ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo, nga omulamuzi Catherine Bamugemereire bw’akyanoonyereza ku nsonga z’ettaka