Omwana Gw'onookopera Tomusabira – Omulabirizi James William Ssebaggala

0
759

Omulabirizi w’e Mukono James William Ssebaggala alaalise abakulu b’amasomero mu bulabirizi bw’atwala obutamalira bannaddiini budde nga babayita okusabira abayizi abeetegekera okukola ebigezo eby’akamalirizo ku mitendera egy’enjwulo ng’ate abasomesa beetegese okubbira abayizi ebibuuzo nga bwekizze kyeyoleka. Omulabirizi Ssebaggala agamba nti eky’okugattika emmandwa n’omugugu tekiba kya buvunaanyizibwa bw’atyo n’avumirira abasomesa n’abayizi abalowooleza mu kubba ebigezo nti ky’ekiviiriddeko n’emize egifumbekedde mu ggwanga.