Ssemaka Bamutemyetemye mu Ttumbi

0
196

Abatuuze ku kyalo Mukuttogumu ekisangibwa mu kibuga Kira mu disitulikiti y’e Wakiso bali mu kutya okw’ekitalo olw’abatemu ab’ebijambiya okuyingirira amaka ga mutuuze munnaabwe, Raymond Rwego ne bamuteemateeka ebiso ebyamutiddewo. Ettemu lino libaddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero era nga abatemu bagambibwa okuba nga baakuulise n’ensimbi ezitamanyiddwa muwendo. Abasinga obungi okuli ne baliranwa ebyabaddewo babitegedde nkeera.