Ssente Ezikola Enguudo Zizze

0
409

Entambula yebiduka esanyaladde ku luguudo oluva e Wobulenzi okugeda e Waluleeta mu gombolola ye Makulubita olw’ekire kyenkuba ekitonye nekileetera oluguudo luno olumazze ebbanga nga lujjudde ebiwonko ne mpompogoma okuselera ebitagambika. Kino kijidde mukiseera nga abattuze bakatabukira abakulembeze babwe ababadde bazze okutongoza okudabiliza oluguudo nga babalangira okulemelerwa okulukola obulungi wabula nebalukola mu ngeri ya gadibe ngalye nga embwa etunda omuzigo.