Aba COSASE Banoonyereeza ku Bbanka Enkulu

0
675

Ababaka abatuula ku kakiiko ka paalamenti akalondoola ebitongole bya gavumenti aka COSASE bagobye abakungu ba banka enkulu nga entabwe eva ku kulemererwa kujja na biwandiiko bikwata ku banka omusanvu ez’obusuubuzi ezaggalwa. Okusinzira ku ssentebe w’akakiiko ka palamenti kano, Abdul Katuntu, abakungu balina okuwayo ebiwandiiko biino obutasusa lunaku lwa balaza ate balabikeko mu kakiiko kulwokutaano lwa wiiki ejja