Eby’ettaka Ly’e Kyankwanzi Bya Ggete

0
5318

Akakiiko akanonyereza ku mivuyo gyettaka akakulemberwa omulamuzi Catherine Bamugemereire kakunyizza Andrew Tendo agambibwa okufuna ekyapa mu bukyamu ku ttaka okutudde enkumi ne nkumi zabantu mu distulikiti ye Kyankwazi ngagamba nti lirye. Ettaka lino litudde ku byalo bisatu omuli Mbogo bbiri, Bugondi LCI ne Kasambya LCI Nga byonna bisangibwa mu gombolola y’e Butemba mu distulikiti ye kyankwanzi nga liweza yika 777.