Ettaka Ly'ebibira Lyabbibwa

0
714

Abeeyita bannyini ttaka gavumenti kweteeseteese okuzza abantu abali mu bitundu ebibumbulukuka mu disitulikiti y’e Buduuda bakombye kwerima nti sibakukkiriza muntu yenna kuzzibwa ku ttaka lyaabwe nga tebannaliyirirwa. Bano bategeezezza nti wadde nga gavuemnti yefuula etamanyi nti ettaka erigambibwa okuba nga lyagulibwa lyaali lya mpewo, bo tebaliyirwangako gavumenti ku ttaka lyaabwe erisangibwa mu ggombolola y’e Bunambutye ne mu disitulikiti y’e Bulambuli.