Eyawemula Omukulu Azzeeyo mu Kkomera

0
455

Suzan Namata eyakwatibwa emyezi ebiri egyiyise nga avunanibwa okuvuma omukulembeze we Ggwanga mu katambi nga ono abadde yesunze okufuna okweyimilirwa azzidwayo mu komera okutuuka nga 20 ogwekumi n’ogumu. Kino kidiridde omuwabi wa gavumenti Njuki Mariam okutegeeza nti polisi tennaleta fayilo ya Suzan mu kkooti. Wabula ab’oluganda ababadde besunze okudayo n’omuntu waabwe gwebagamba nti atulugunyizidwa ekimala balaajanidde ne pulezidenti museveni okusonyiwa omwana wabwe.