Musisi Ayogedde Ebimulemesezza

0
721

Nankulu wa Kampala Jennifer Ssemakula Musisi yekkokodde abalyolyomi abazze bagezaako okulemesa enkulalakulana mu Kampala n’agamba nti buli kyabadde assaako engalo nga kiwakanyizibwa. Musisi okwogera bwati abadde akwasa Makerere mu butongole ebintu ebikoleddwa KCCA omuli wankaaki eyazibwa obujja, ebitaala , enguudo nebirala ebyazimbibwa KCCA.