Ogwa Vipers ne Express Guwedde Maliri

0
4382

Mu startimes Uganda Premier league, Vipers evudde emabega okukola amliri ga goolo 1-1 ne Express e Wankulukuku mu mupiira ogulagidwa obutereevu ku Sanyuka Tv. Tonny Odur yesoose okuteebera Express goolo ya peneti mu kitundu ekyasoose ate Daniel Ssserunkuuma owa Vipers nasubwa peneti mu kitundu kyekimu. Mu kitundu ekyokubiri, Tito Okello avude ku katebe okuteeba goolo y’ekyenkanyi yadde nga alabise nga abade akuumye. Vipers kati erina obubonero 15 nga beekana ne KCCA FC era bombi tebanakubwamu sizoni eno ate Express kati erina obubonero 12.