Museveni Asiimye Poliisi Kubujagalo

0
590

Omukulembeze w’eggwanga asiimye byansusso omulimu poliisi gwekoze mu kulwanyisa abeekalakaasi n’okumala bannabyabufuzi ab’oludda oluvuganya amaanyi nga agamba nti obukodyo poliisi bwezze ekozesa ensangi zino bukoze kyamaanyi mu kulinnya obujagalalo ku nfeete.
Bino omukulembeze w’eggwanga abyogeredde ku mukolo gw’okujaguza olunaku lwa poliisi olusokedde ddala mu nsi yonna ku bikujjuko ebibadde ku kisaawe e Kololo.
Pulezidenti akuutidde poliisi okugenda mu maaso nenkola gyeyatandika ey’okuweewenyula abantu kibooko okusinga okukozesa ebintu ebyobulabe nga amasasi okubagumbulula.

More News