Bannakyewa Beekutte Abavubuka ku Nguzi

0
1083

Ekibiina ky’obwa nnakyewa ekiri ku lutalo olw’okulwanyisa enguzi ki ACCU kifulumizza alipoota ng’erumika ekitongole ekiramuzi nti ensangi zino ky’ekikulembedde mu muze ogw’obukenuzi n’obulabbayi.
Alipoota eno efulumiziddwa wakati mu kukuza wiiki ey’okulwanyisa enguzi, era ba nnakyewa bano basuubizza nti mu lutalo lwe baliko essira baakuliteeka ku bavubuka kubanga be bakulembeze ab’enkya.