Kayihura Bamwongedde Ekisanja, Ababaka Boogedde ku Kino

0
618

Pulezidenti Yoweeri Kaguta Museveni yazeemu n’awa Ssaabaduumizi wa Poliisi ekisanja kya Myaka esatu addemu aduumire poliisi.
Museveni waayongeredde Gen. Kale Kayihura ekisanja nga poliisi erina okusoomooza okwenjawulo wano na wali, omuli n’ettemu erituusibwa ku basajja baayo, enguzi mu yo mpozzi n’ebbula ly’ebikozesebwa ebimala mu kitongole.
Abantu abanjawulo ekya Kayihura okuweebwa ekisanja ekirala bulyomu akirabye bubwe.