Ababaka Bakunyizza Ekitongole Ky'ebibira

0
1098

Abakulira ekitongole ekivunanyizibwa okukuuma ebibira ekya NFA bukya balya myungu olwaleero balidde butanga, ababaka ba paalimenti babataddeko akazito nga babanenya okwesulubabba omulimu ogwabakwasibwa.
Ababaka abatuula ku kakiiko akalondoola emirimu gy’ebitongole bya gavumenti, bakunyizza abakulu abo nti bazze mu kutunula ng’ebibira bisaanawo.
Ababaka banokoddeyo ekibira Zoka gavumenti ky’eyagala okuwaayo balimeko ebikajjo, kwe kubuuza aba NFA nti babeera wa nga gavumenti esalawo ku nsonga ng’ezo.

More News