Abakoola Obwegassi Bafunyeemu

0
55

Oluvannyuma lw’okukulira mu bwavu obwekitalo nga family zaabwe zeeyaguza njo n’abamu ku bazadde baabwe okubeera balujujju, abavubuka mu ggombolola y’e Kikyusa ku kyalo Kirimandagi mu ssaza ly’e Bulemeezi, basazeewo okuyitira mu bwegassi okukyusa ebyafaayo by’ekitundu kyabwe nga batandika project z’okweggya mu bwavu.
Bano bagamba nti tebayinza kukikiriza kuzingira mikono mabega amaanyi gabwe ag’ekivubuka okufa ttogge kwekuvaayo nebassa kimu ng’enkuyege okukolera awamu emirimu egy’enjawulo okuli obulimi, obulunzi, okuyimba ne katemba, Obusubuuzi n’ebyemikono.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here