Eddwaliro Lyee Kawempe Lyeraliikirizza Ababaka

0
1063

Abasawo mu ddwaliro lya Kawempe -KCCA wowulira bino nga basobeddwa eky’okukolera omujuzo gwa balwadde abeeyiwa mu ddwaliro lino buli lukya sso nga ensimbi ezibasasulwa n’ebikozesebwa mu mulimu gwabwe bitono ddala.
Abasawo okuwanjaga bwebati, kiddiridde ababaka ba parliament abatuula ku kakiiko k’ebyobulamu ababadde bakulembedwa SSentebe wako Michael Bukenya okuwuubako olubu lw’ekigere mu ddwaliro lino okulaba omulimu gw’okuzimba eddwaliro wegutuuse n’okusoomozebwa abalwadde n’abasawo kwebasanga.