Kyamadidi Afeebye, Amasasi Ganyoose e Mbarara

0
762

Amasasi ganyoose mu kibuga Mbarara era omuntu omu addusiddwa mu ddwaaliro ng’ataawa, poliisi bw’ebadde egumbulula abawagizi ba Vincent Chamadidi, eyali yeesimbyewo ku kifo ky’omubaka wa paalimenti owa Rwampala.
Kiddiridde kkooti enkulu e Mbarara okugoba omusango Kyamadidi gwe yawaaba ng’awakanya obuwanguzi bwa Charles Ngabirano eyamuwangula ku kifo ekyo.
Kino kitabudde abawagizi ba Kyamadidi, olwo ne baalumba omulamuzi Nabisinde Winfred, era ne bambalira n’abawagizi ba Ngabirano.