Pulezidenti Museveni Adduukiridde Abaweesi Bee Katwe

0
556

President Yoweri Museveni asuubizza okukwata ensimbi enkalu azigabire abantu abayiiya era abalina bye beetandikiddewo, kubanga akizudde bano be basobola okusitula eby’enfuna by’eggwanga.
Museveni abadde Katwe gy’asisinkanye ekibiina ky’abaweesi abokya ebyuma n’okukola ebintu ebyenjawulo mu buweesi.
President abasiimye olw’obutetenkanya, olwo n’abatonera ebyuma eby’omulembe ebisala ebyuma, ne kavu wa bukadde 100.