Winnie Byanyima Ayogedde Ekizibu Kya Uganda

0
1529

Muka Dr Kizza Besigye era omukungu w’ekibiina ky’amawanga amagatte kyaddaaki avuddemu omwasi ku bigenda mu maaso mu ggwanga. Byanyima era nga yaliko omubaka mu lukiiko lw’eggwanga, akinogaanyizza nti ekiseera kituuse president Museveni ne munne bwe batalima kambugu Dr Kizza Besigye, empalana yabwe bagizze ku bbali bateese. Byanyima agambye nti ensi Uganda ya bannayuganda bonna so si abakulu bano ababiri bokka.