Besigye Aloopye Poliisi mu Bazungu

0
469

Munnakibiina kya FDC DR Kizza Besigye agenze mu Bazungu n’abaloopera nti mu Uganda tekyali ddembe.
Dr Besigye asinzidde mu America n’abategeeza nti okuva obufuzi bw’amatwale bwe bwaggwaawo, Abazungu ne bakwasa bannayuganda obuyinza, Uganda teddaangamu kufuna buweerero, buli akwata obuyinza afuuka lukokkobe era yeerowozaako yekka.
Mu ngeri yeemu abategeezezza nti ye nga munnabyabufuzi ekkomera lyafuuka makaage, olw’okuvangayo okwogera kw’ebyo ebitagenda bulungi mu ggwanga.