Ani Akungaanya Ssente mu Lufula?

0
578

Abakulembeze ba lufula beeganye ebyogeddwa Basajjabalaba nti baliko ensimbi zebakunnganya nebaziweereza Ssabaduumizi wa poliisi ne Loodi Mmeeya Lukwago.
Bano bagamba nti tebalina musolo gwebakunnganya mu kifo kino era Basajjabalaba byayogera bya ppa ebigendereddwamu okuboononera elinnya.
Abantu abasoba mu mitwalo esatu bebakolera mu lufula eno wabula nga ensimbi zebeekunnganyamu zebeeyambisa okulongoosa ekifo, okusasula amazzi n’amasannyalaze gebakozesa mu mirimu gyabwe.