Kiggundu Agire Nga Adda mu Woofisi Ye – Mao

0
722

Bannabyabufuzi ab’oludda oluwabula gavumenti nga bakulembeddwa ssenkaggale wa DP Nobert Mao beekubidde enduulu eri sipiika wa paalimeti nga bamusaba abayambe paalimenti eyimirize eby’okusunsula mu bakulu abaalondeddwa ku kakiiko k’ebyokulonda akaggya.
Bano basemba waakiri akakiiko ka Dr Badru Kiggundu kalekebwe kagira kawereza okumala emyezi 6, eggwanga limale okukkaanya ku kakiiko bannayuganda bonna ke baneenyumirizaamu.
Ab’oludda oluvuganya baavaayo dda ne bajungulula akakiiko president Museveni ke yaakalonda, nti bbo teyabawa mwagaanya kuweerezaayo bantu babwe.