Mmotoka 90 ku Buli 100 Eziri ku Nguudo Nfu

0
579

Poliisi ya Uganda ewadde alipoota eyeeraliikiriza, bw’ekawangamudde nti emmotoka z’olaba zitambula ku nguudo za Uganda ezisinga zaggwaayo dda. Alipoota egambye nti mmotoka 90% zonna zi ganyegenya era tezisaana kutambula.
Police egenze okuwa alipoota eyo nga gavumenti yaakalangirira ekikwekweto ttokkowenja, mw’egenda okukeberera ebidduka bya bannayuganda byonna.