Ow'emyaka 16 Yeekumyeko Omuliro lwa Kumukyawa

0
565

Nnaalongo Saaliima ow’emyaka e 16 yeyeekumyeko omuliro oluvannyuma lwa bba ategeerekeseeko erya Kalidi okumugoba mu nju ng’amuvunaana okupepeya n’abasajja abalala.
Saalima abadde ayogera ng’akema nga n’okuleenya aleenya, agambye nti obusungu bwamukutte kuba bba Kaalidi omugoba wa bodaboda yamuggya mu ssomero, ate okumwekyusiza mu budde buno amufubutule ate ngali lubuto, kwekweyiwako petulooli waakiri afe naye nga tazze mu bakadde be.