Sipiika Kadaga Ayambalidde Abatayagala Agende Bweru, Agamba 'Tebategeera"

0
1068

Sipiika wa palaamenti Rebecca Alitwala Kadaga atabukidde abamwogerera nti akola kikyamu okulinyanga enyonyi buuli olukedde okugenda ebweru w’egwanga okwetaba mu nkung’ana ez’enjawulo.
Kadaga okwogera abadde ku bizinga by’e Kalangala ng’akwasa abantu baayo ebintu ebyokukozesa mu malwaliro ebibalirirwamu akakadde aka doola byeyasaka okuva mu lukung’ana lwa Uganda North American Association (UNAA) Omwaka oguwedde.
Kadaga era awakanyizza enteekateeka ya gavumenti ey’okwagala okuggyaawo amalwaliro agali ku mutendera gwa Health Centre II ng’agamba nti kyakwongera okukosa enzijanjaba mu ggwanga.

More News