Abasawo Babale, Eddagala Tewali

0
556

Abasawo mu malwaliro naddala ageesudde ewala n’ebibuga ebikulu balaajana nga bwebakolera mu bugubi era nga beevuma n’ekyabatwala okusomerera obusawo.
Mu district y’e Bushenyi, ku ddwaliro lya Kyamuhunga Health Centre 3 abasawo abakolayo gebakaaba gebakomba nga bagamba nti batuuka n’okwemagaza okumala emyezi egiwera ebiri nga tebalina ddagala lyebajjanjabisa balwadde ababeera bazze okufuna obujjanjabi.
Bushrah Namirimu yatuukako mu ddwaliro lino era embeera gyeyasangayo nga wamma ddala tewoomya nnakabulul.