Mugula Ne Ssemata Basoose Wano

0
725

Olunaku Olwenkya enguumi ne tteke byakuyitingana ku MTN Arena e Lugogo abalwanyi abaamanya okuva e Uganda namawanga agatuliranye bwebanayambalagana mu mitendera egyenjawulo mu nsambaggere.
Mululwana olukulu, Umar Ssemata akwatagana ne Ronald Mugula nga bano bagenze okupimibwa nga bonna kumpi benkana obuzito ne kilo 72.
Wabula nga tebanapimibwa, abalwanyi bano naabalala abanaabera mu migwa enkya basoose kuwanyisiganya bigambo nga buli omu yewaga nga bwanakuba munne.