Embalirira Ya Museveni Mugyegendereze – Winnie Kizza

0
402

Aboludda oluvuganya gavumenti mu palaamenti balabudde ebitongole ebiwola nsimbi mugwanga n’ebweru weggwanga okuba abagendereza nga bawola gavumenti ya Uganda Ensimbi kubanga okusinziira ku mbalirira eyasomeddwa eyomwaka 2017/18 gavumenti yandilemererwa okubasasula mubudde.
Ababaka bano nga bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Winnie Kiiza bagambye nti ku trillion 29 trillion 13 zakuva mukwewola ela nebalabula banauganda okwetegekera obudde obuzibu mumbalirira eno eyasomeddwa.