Mengo Esomesezza Kadaga 'Ekyapa mu Ngalo'

0
563

EKITONGOLE kyobwa kabaka ekikola ku byettaka ekya Buganda land Board kikakasiza omukubiriza w’olukiiko lwa Uganda Rebecca kadaga nga kabaka bwatalina nteekateeka yonna egoba bantu ku ttaka lyobwakabaka nga bwebiyitingana mu nkola emayiddwa nga kyapa mu ngalo.
Buganda Land Board mu kiseera kino esabye sipiika aleme okuggalira ekiteeso kyonna ekikwata ku kyapa mu ngalo ssinga kiba kireeteddwa mu paalimenti.